Munnakisinde kya People Power omulala wangudde obwa Guild e Nkumba

Munnakisinde kya People Power Our Power eky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine omulala Bryon Luswata, nga muyizi ali mu mwaka ogw’okusatu nga asoma Mateeka ku Yunivasite e Nkumba awangudde ekifo kya Guild President.
Luswata alangiriddwa Ssentebe w’ebyokulonda ku Ssetendekero ono Kim Mohammed. Ono yafunye obululu 205, naddirirwa Timothy Obua 203, Darius Agaba 161, Abel Lodu 139 ne Josephine Namatovu 103 ne Marvin Lwanga 41.

Leave a Reply