Munnakisinde kya People Power asisinkanye Pulezidenti

Ashburg Katto avuddeyo ku mukutu gwe ogwa twitter nategeeza nga bwasoose abalala okwambala engule. Ono agamba nti yakyalidde ku mukulembeze w’eggwanga ku ffaamu ye nabasomesa okulunda. Ono agamba nti yabadde amutwalidde ‘project proposal’ gyeyatuumye ‘The Ghetto Initiative’ egenda okubbulula ghetto zonaa mu Kampala. Ono yebazizza Barugahara Balaam Ateenyi olwokumutwala.
Agamba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yamuwaddeyo ente 5 n’abalala nabawaayo bbiri buli omu nabasaba okussa munkola basomese ne bavubuka banaabwe.
“MPOZZI NAKATALEKEKA…. PULEZIDENTI YAKIRIZZA PROPOSAL YANGE ERA EGENDA KUTEEKEBWA MU NKOLA OLUVANNYUMA LWA LOCKDOWN ENO.
#Mission2021
#SevoAfterSevoAfterSevo
#ThankYouPresidentM7”

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply