Munnakibiina kya NUP asindikiddwa ku alimanda e Mityana
Omulamuzi wa Kkooti esookerwako e Mityana Mugizi Obeid asindise Munnakibiina kya National Unity Platform era eyegwanyiza ekifo ky’Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Mityana Proscovia Nabbosa Mukisa ku alimanda mu Kkomera e Mityana okutuusa nga 22-May lwanawulira okusaba kwe okwokweyimirirwa. Ono yakwatiddwa olunaku lweggulo avunaaniddwa omusango gwokukozesa ebigambo ebisiga obukyaayi wamu nokutyoboola.
Bya Joseph Balikuddembe
#ffemmwemmweffe

