Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 149 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Poliisi ekutte ababadde batikka embaawo ku loole ya UPDF

August 8, 2023 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’ettundutundu lya Ssezibwa ne CPS y’e Lugazi bwebakutte abantu 4 nga bano bagenda kutwalibwa mu Kkooti oluvannyuma lwokubasanga n’embaawo. Kigambibwa nti nga 31-07-2023, Poliisi yakwata; WO Ntumwisho Temteo, 51 ngono ddereeva wa Military omutuuze mu nkambi y’amaggye e Mbuya, Serunja Jordan, 23 nga mutuuze w’e Kitenga Lugazi, Serwada Steven, 20 omutuuze w’e Kayanja Mukono ne Kyomugisha Robina, 38 omutuuze mu Kinyoro zone mu Lugazi Municipality, nga bano basangibwa batikka embaawo ku loole ya UPDF nnamba H4DF 334 mu Kibira kya Mabira.