Mugamba nti ekifo kiba kya Sipiika aliko, singa aba musajja? – Rt. Hon. Kadaga
Capt. Mike Mukula avuddeyo nalungamya ku kifo ky’omumyuuka wa Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM owookubiri (Omukyala) nategeeza nti kino tekirina kubeera kyamuntu omu yekka.
Wabula eyaliko Sipiika wa Palamenti Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga avuddyo nawakanya ebigambibwa nti ekifo kino kirina kubeeramu Sipiika abeera aliko mu kiseera ekyo nga yebuuza nti singa kiba bwekityo nga Sipiika aliko musajja, olwo yabeera omumyuuka wa Ssentebe (Omukyala)?
#ffemmwemmweffe

