Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 644 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi e Masaka ekutte ababba ennamba

June 15, 2019 · Mubiru Ali

Ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obubbi bw’emmundu ekya Flying Squad enkya yaleero kikutte abasajja 4 ababadde bagufudde omugano nga ogw’enswa okubba ennamba za motoka nebalekawo ennamba z’essimu zaabwe nga baagala banannyini motoka babawe ssente.
Abakwatiddwa kuliko; Bbale Kitasa 27, omutuuze w’e Kyotera, Kamya Charles 36, Ssegawa Javira 48 omutuuze w’e Rakai ne Habasa Charles 25 ow’e Kyotera.
Bano bagiddwa mu bifo eby’enjawulo gyebabadde bekukumye oluvannyuma lw’okukitegeerako nti banoonyezebwa era nebasangibwa ne nnamba za motoka.