Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 216 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Mpaawo mulwadde wa COVID-19 yafudde mu Yuganda – Minisitule

March 26, 2020 · Mubiru Ali

Ministry of Health- Uganda evuddeyo nesambajja engambo ezibadde zibungesebwa ku ‘Social Media’ nga bwewaliwo omulwadde wa #COVID-19 mu Yuganda afudde, Minisita agamba nti abalwadde bonna 14 bakyajanjabwa era nga bagenda bakuba ku matu. Omwana ow’emyezi 8, Maama we ne Taata we bagiddwa e Iganga mu Ddwaliro nebatwalibwa mu Ddwaliro e Mulago gyebali mu kulondoolwa, baweereddwa emmere era nga bali mu mbeera nnungi.Ku bantu 574 abava e Dubai mu mwezi gwa March, 129 bali mu ‘Institutional quarantine’ ku bano abantu 40 abalina obubonero bwa #COVID-19 bagibwako omusaayi wabula nebasangibwa nga tebalina ssenyiga ono.