Breaking
News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe. News: Egimu ku mirimu gyOmubaka wa Palamenti egirambikibwa Ssemateeka kwekuli okukiirira abantu, okuyisa amateeka, okulondoola wamu nokutematema News: Omubiri gweyali omukozi wa Radio Simba Ffemwe Mweffe Alex Edward Ssaava Nsubuga Kigoonya Mukulu amanyiddwa ennyo nga Alex Mukulu aka Kalekyeezi
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 325 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Bobi Wine yabadde ategese okwekalakaasa – Fred Enanga

January 18, 2021 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti amaggye ne Poliisi teganasibira Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine mu maka ge nti wabula abasirikale bano batekeeddwayo oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti Bannakibiina kya National Unity Platform babadde bakunze abantu okuva mu bifo eby’enjawulo mu Yuganda okujja mu Kampala batandike obweggungungo.
Enanga agamba nti babadde babakunze okuva mu Disitulikiti okuli; Luweero, Jinja, Mityana, Kasese ne Mbale. Enanga era agamba nti bakitegeddeko nti Kyagulanyi yebabadde emabega w’okwekalakaasa kuno kyebavudde bagaana omuntu yenna okuyingira ewuwe naye yennyini okufuluma.
Enanga ategeezezza nti ebyokwerinda e Magere ne mu bitundu bye Kasangati byakusigala nga bwebiri okutuusa embeera nga ezze mu nteeko.