Minisita w’obuwangwa, Ennono n’Obulambuzi alambudde ennyanja ya Kabaka

Minisita w’obuwangwa, Ennono n’Obulambuzi Owek David Kyewalabye Male alambudde omulimu gw’okulaakulanya ennyanja ya Kabaka wegutuuse.
Mu bikoledddwa kuliko ekisaawe kya basket ball, awazannyirwa Volleyball, awawummulirwa, wamu n’ekifo aw’okuwummulira.
Owek. Kyewalabye asinzidde wano naasaba abooleza emotoka mu mazzi g’ennyanja bakikomye mu bunnambiro wabula bakozese emyala egifulumya amazzi gano. Mu ngeri yeemu asabye n’aba Garage z’emmotoka balekerawo okuyiwa oil mu mazzi g’ennyanja.
Minisita agambye nti ennyanja kya bulambuzi kikulu mu Uganda n’ensi yonna kubanga yesinga obunene mu nnyanja ezaasimwa n’emikono

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply