97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Minisita Muyingo atabukidde abagagga abagoba abantu ku ttaka

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenjigiriza eby’amatendekero aga waggulu era omubaka mu Palamenti akiikirira essaza ly’e Baamunaanika, Dr. JC Muyingo, atabukidde  abeeyita abagagga abeesomye okutigomya abatuuze nga babasengula ku ttaka  mu ngeri emenya amateeka .

Kino nno kiddiridde abatuuze naddala mu ggobolola y’e Zirobwe  okulaajana nga basaba abakulembeze bwaabwe naddala omubaka waabwe mu Palamenti,  Dr. Muyingo okubeerako ne kyakolawo ku bantu bano abagambibwa okusengula abantu awatali kugoberera mateeka ga ttaka, naddala ago agafuga abasenze ne ba nnannyini ttaka.

Dr. Muyingo okulabula kuno akukoledde mu muluka gw’e Bukimu mu ggombolola y’e Zirobwe mu Ssaaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’e Bulemeezi mu Luweero bweyabadde ayogerako eri abatuuze mu kitundu ekyo.  

About Mubiru Ali

Leave a Reply