Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Omusango oguvunaanibwa Bobi Wine n’abalala gwongezeddwayo okutuuka nga 3 December.

October 1, 2018 · Mubiru Ali

Omulamuzi w’eddaala erisooka Yusuf Ndiwalana alagidde bambega be Gulu ne Arua abali ku misango gya Bobi Wine ne banne 32 balabikeko mu maaso ga Kkooti bannyonyole ku bizibiti byebaggya ku bakwate okuli emotoka n’amasimu.

Bino byogeddwa oluvannyuma lwa Munnamateeka waabwe Asuman Basaalirwa okutegeeza kkooti nti amasimu gabavunaanibwa gakozesebwa aba SFC okukwata mikwano gyabwe nti era n’emotoka zaabwe ziri ku Poliisi ya CPS mu Arua zonooneka.

Omulamuzi Yusuf Ndiwalana ayongezaayo omusango guno okutuuka nga 3 – December oluvannyuma lwa Bannamateeka ba bawawabirwa okusaba ebbanga lya myezi 3 nga bagamba nti oludda oluwaabai lukoze okunoonyereza mukasoobo nnyo wamu n’olugendo oluwanvu abawawabirwa lwebalina okutambula n’ensimbi eziteekebwamu.