Breaking
News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe. News: Egimu ku mirimu gyOmubaka wa Palamenti egirambikibwa Ssemateeka kwekuli okukiirira abantu, okuyisa amateeka, okulondoola wamu nokutematema News: Omubiri gweyali omukozi wa Radio Simba Ffemwe Mweffe Alex Edward Ssaava Nsubuga Kigoonya Mukulu amanyiddwa ennyo nga Alex Mukulu aka Kalekyeezi
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 326 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Minisita asimattuse okuttibwa

January 13, 2021 · Mubiru Ali
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki, enkay yaleero asimattuse okuttibwa abatamanyangamba ababadde babagalidde emiggemerawala abasindiridde emotoka ye amasasi.
Dr Kasirivu nga ye mubaka wa Bugangaizi West mu Palamenti agamba nti ku ssaawa nga musanvu ogw’enkya yaleero ku kyalo Kakora village, Nyalweyo Town Council mu Disitulikiti y’e Kakumiro kiromita ntono ddala nga anatera okutuuka ewuwe bwabadde ava ku leediyo ya Emambya FM mu ttawuni y’e Kakumiro abantu abatanategeerekeka basindiridde emotoka ye amasasi agasoba mu munaana. Ye Ddereeva we basobodde okusimattuka oluvannyuma lwa ddeereva we okwongeza sipiidi.
Omukuumi we era nga yabadde avuga mukaseera kano agamba nti balumbiddwa abasajja ababadde n’emmundu nga babiri bakubye amasasi okuva ku njuyi zombi.

office 2013