Duncan Abigaba nga ono yaliko omumyuka wa President mu by’okunoonyereza avuddeyo ku mukutu gwa Twitter nategeeza nti Kassiano Wadri omusajja ow’erinnya nga abadde mu lukiiko lw’eggwanga okuva mu 2001 era nga amanyiddwa buli omu mu West Nile yafuna atya obululu 6,528 mu Arua Municipality erimu abalonzi 46,000? Ayongera n’agamba nti abantu abalonda baali 16,000 lwaki abalala 30,000 tebajja nebamulonda nga yalina omuyimbi ow’erinnya Bobi Wine eyali amunoonyeza akalulu?

Menu