Lukwago mubanja akassente kange – Jennifer Musisi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Nnankulu wa Kampala, Muky.Jennifer Musisi Ssemakula Nakku addukidde mu kkooti ng’ayagala eyise ekiragiro omusaala ogubadde gusasulwa Loodi Meeya Erias Lukwago, guboyebwe.
Musisi agamba nti, Lukwago yagaana okumusasula ssenteze obukadde 47, zeyasasaanya mu musango gweyawangula mu mwaka 2012.
Mu July wa 2012, Omulamuzi wa kkooti enkulu Eldard Mwangutsya, yagoba omusango Lukwago gweyali awawaabidde Musisi ng’agamba nti, yali ayitirizza okumuyisaamu amaaso n’atuuka n’okutuuza enkiiko z’abasuubuzi nga tamwebuuzizaako ye nga Meeya Omuloodi era eyalondebwa abantu.

Musisi agamba nti aludde ng’ajjukiza Lukwago amusasule akassenteke kyokka nga yeefudde nampulira zzibi bwatyo kwekusalawo okuddukira mu kkooti emuyambe. Ng’ayita mubannamateekaabe aba Kasirye, Byaruhanga Advocates.

Share.

Leave A Reply