Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 213 listening Simba FM Live

Abakulira ebibiina ebivuganye Gavumenti begasse okulwanyisa lyebayise ejjoogo lya NRM

August 1, 2022 · Mubiru Ali
Abakulembeze ku ludda oluvuganya Gavumenti okuva mu bibiina ebyenjawulo olunaku olwaleero basisinkanye era nebakiriziganya okukolera awamu okulaba nti okulonda okuddako kukyuusa mu bukulembeze; Abakulembeze okuva mu National Unity Platform bakulembeddwamu Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, aba Forum for Democratic Change bakulembeddwamu Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye, aba
JEEMA bakulembeddwamu Hon. Asuman Basaalirwa.
Bano bagamba nti ekibiina kya National Resistance Movement – NRM kisusizza okugulirira abalonzi wamu n’okubba akalulu nga kino kyeyolekera mu kulonda okwaliwo e Kayunga, Omoro ne Soroti East.