Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Lt. Col. Nakalema akutte abakozi ba Middle East Consultants

Ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu Ggwanga okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga ekya State House Anti-Corruption Unit kikutte abakozi ba Middle East Consultants babiri, kkampuni etwala abakozi ebweru w’eggwanga lwakuggya ku bantu ssente mu lukujjukuju okuva ku bantu 27.
Okusinziira ku kitongole kino, ekitongole kya Middle East Consultants kibanjibwa obukadde 51 nga zawebwayo abantu okubafunira emirimu emyaka 3 egiyise.
Abakwatiddwa kuliko Benon Kunywana, General Manager ne Ayamba Owen field agent. Kigambibwa nti Kunywana yajja ku bantu 20 ssente eziwerera ddala obukadde 51 nga abasuubizza emirimu mu nsi ze Buwalabbu kyatatuukiriza.
Lt. Col. Edith Nakalema yategeezezza nti Ayamba yakwatiddwa ku kisaawe ky’ennyonyi nga agezaako okukukusa abawala 27 okubatwala e Buwalabbu nga akozesa ebiwandiiko bya Gavumenti ebijingirire wabula natoloka.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort