Leero Bobi Wine ne Barbie bawezezza emyaka 10 mu bufumbo

Bwerwali bweruti nga 27-8-2011 Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ne Barbie Kyagulanyi nebakuba ebirayiro mu bufumbo obutukuvu. Barbie avuddeyo; “Taata, laba gyetuvudde. Osobola okukikirizza nti olwaleero giweze emyaka 10 nga tuli mu bufumbo obutukuvu, emyaka 20 mu mukwano ogwanamaddala?
Yo! Obudde nga bwanguwa! Ndaba nga eyayimiridde ggyo ku siteegi ya National theater noyogera layini zino “Lady Will You Marry Me?”
Mr. Cat, ddala giweze emyaka 20?
Katonda wakisa era musaasizi. Omukono gwe ogwekisa gutukuumidde wamu biseera ebizibu.
Nkukulisa okutuuka ku lunaku luno Owomukwano.” Tubaagaliza obuwangaazi Bakyagulanyi.
Ini Shaa Allah

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply