Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 354 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

kyaligonza toli waggulu w’amateeka – HE. Museveni

March 9, 2019 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddemu omwansi ku bya munnamaggye Gen. Matayo Kyaligonza okusiwuuka empisa bwe yakuba omuselikale wa Poliisi y’okunguudo, nagamba nti alina okuvunanibwa mu kkooti z’amateeka emisango egy’ekuusa ku kuwuttula omusirikale eyali akola omulimu gwe, kyagamba nti tewali muntu ali waggulu w’amateeka kaabe munnamaggye ali ku ddaala erisembayo.
“Gyebuvuddeko nawulira nti waaliwo Genero mu maggye eyawummula nti yapacca omuselikale w’okunguudo omukya empi, ne muleekaana, kati Omusirikale oyo agenda kuvunanibwa mu kkooti z’amateeka kubanga teri muntu akkirizibwa kukuba muntu munne, yadde okumuboggolera. Bwoba owulira nga oli mukambwe nnyo osobola okutusaba ne tukutwala e Somalia, eyo ye wali abakambwe abangi” Museveni bwe yagambye.