Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 328 listening Simba FM Live

Kkooti eragidde Makerere okuliyirira Dr. Stella Nyanzi obukade 120

June 12, 2020 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Lydia Mugambe avuddeyo nawa ensala ye mu Musango Dr. Stella Nyanzi (Team Dr.Stella Nyanzi) mweyawawabira Makerere University olw’okuzimuula ekiragiro kya Kakiiko ka Staff Appeals Tribunal eky’okumuzza ku mulimu nalagira bamuliyirire obukadde 120.
Omulamuzi mukuwa ensala ye ategeezezza nti Makerere University yalina okussa ekiragiro ky’akakiiko kano mu nkola kuba kyekyakateekesaawo so ssi kugaana byekasazeewo.