Kkooti ekirizza URA okuddamu okukebera emotoka ya Bobi Wine

URA EDDEMU EKEBERE EMOTOKA YA KYAGULANYI: https://youtu.be/AbcTerZ4qj0
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Emmanuel Baguma avuddeyo olunaku olwaleero nagoba okusaba kwa Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine kweyali ataddeyo nga ayagala Kkooti eremese ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) okuddamu okwekebejja emotoka ye.
Omulamuzi agamba nti Kyagulanyi talina bujulizi bwoleka nti ddala emotoka eno bwanaaba agiwaddeyo mu URA eno enatuusibwako obulabe nga ekitongole tekisobola kumuliyirira.
Omulamuzi era agamba nti Kkooti tebadde mativu na Kyagulanyi okugamba nti bwebagitwala tajja kubeera nantambula wamu n’obukuumi nga ye.
Omulamuzi era agobye okusaba kuno nga buli ludda lwakwesasulira ensimbi zerutaddemu.
Okusinziira ku Munnamateeka wa Hon. Kyagulanyi, Geoffrey Turyamusiima yavaayo nategeeza nti teyalina buzibu bwonna kukuddamu okwekebejja emotoka ye ekika kya Toyota Land Cruiser nti wabula yali ayagala kikolebwe mu maka ge e Magere nga naye waali. https://youtu.be/AbcTerZ4qj0

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply