Nabakooba addukidde mu Kkooti, Baagala yanziba

Pinterest LinkedIn Tumblr +
BAAGALA YAKOZESA ABEBYOKWERINDA OKUTIISATIISA ABALONZI:
Minisita Judith Nabakooba nga Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM addukidde mu Kkooti Enkulu e Mubende ngayagala esazeemu obuwanguzi bwa Munnakibiina kya National Unity Platform Joyce Baagala. Nabakooba yakwata kyakubiri n’obululu 48,078 agamba nti Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda ne Baagala eyafuna obululu 64,305 bekoobana okubba obuwanguzi bwe. Ye Brenda Nabaliisa, yafuna 1,509. Okusinziira ku muwandiisi wa Kkooti e Mubende Godfrey Kaweesa, agamba nti Minisita Nabakooba agamba nti abakakiiko k’ebyokulonda balemererwa okukola omulimu gwabwe ekyamuwanguza. Minisita agamba nti ba presiding officer bekoboona ne ba agent ba Baagala nebakyuusa ebyava mu kubala obululu ku Declaration Results forms. Alumiriza Baagala okugulirira abalonzi wamu nabebyokwerinda nebatiisatiisa abawagizi be. Minisita Nabakooba agamba nti Baagala yalabwa ku lunaku lwokulonda nga agulirira abalonzi ne ssente.
Share.

Leave A Reply