Kawooya ali bubi – Mwannyina

Ab’ennyumba ya Yusuf Kawooya eyalabwaka nga atulugunyizibwa abasajja abaali mu ngoye ezabulijjo nga bamutulugunya bagamba nti abamulabyeko babategezezza nti embeera gyalimu mbi nnyo, nga ava omusaayi mu matu n’ennyindo saako amasira era nga yasanyaladde oludda olumu ekibawalirizza olunaku olwaleero okuddukira mu kkooti nga baagala ewalirize ebitongole byebyokwerinda ebimulina okumuleeta mu kkooti avunaanibwa kuba essaawa 48 eziragibwa okubeera n’omusibe nga tanaleetebwa mu kkooti zayita dda.
Kawooya agamba nti wadde nga alina omusawo amujanjaba naye yetaaga obujanjabi. Mwannyina ateegezeza nti Kawooya yamugambye nti bamubuuza ebibuuzo ebyenjawulo omuli okuba nga amanyi abakuba emotoka ya Pulizidenti amayinja mu Kampala, okuba nga alina ebibinja by’abasiraamu byakolagana nabyo, okutunda ettaka emirundi ebiri, ku kye motoka gyebamukwata bamubuuza agamba nti tewali yali amubuuzizza ku motoka yonna era ye talina musango gwa motoka yonna.
Bannamateeka bagamba nti ono si munnamaggye nabwekityo bewuunya lwaki abajjaasi lwaki bamulemera. Nabwekityo bannamateeka baagala kkooti ewalirize abamulina bamuleete.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply