Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 224 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Katikkiro Mayiga agugumbudde abakulembeze abakyukakyuka

July 7, 2017 · Mubiru Ali

Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga enenyezza bannabyabufuzi mu ggwanga lyattu Yuganda abagenda nga bakyusakyusa endowooza zebaba baalina mu lubereberye, n’agamba nti endowooza zino bwezigenda zikyukakyuka kitandika okulaga bannansi omutima ogw’okweyagaliza n’okwefaako bokka na bokka nga tebakyafa ku nsonga za ggwaga.

Mayiga okwogera bino  abadde awaayo obubaka obwamutikkiddwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii ku mukolo ogw’okusabira Omugenzi John Ssebaana Kizito ogubadde ku Lutikko e Namirembe olwaleero. 

Katikkiro ayongeddeko nti abantu abakyukakyuka baba beenonyeza byabwe era abatafa ku bulungi bwa Yuganda.

“Ebyobufuzi biteekeddwa kuleeta ddembe,  kutumbula byabulamu,  byanjigiriza, kufunira bantu mirimu na kussa kitiibwa mu ddembe ly’abantu “. Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga.