Katikkiro atongozza empaka za Volleyball ez’amazaalibwa ga Kabaka.

Guno gwe mulundi ogw’okusatu empaka zino nga zizannyibwa okuva Owek Twaha Kaawaase lweyazitongoza mu 2017.

Bwabadde atongoza empaka zino ku Bulange, Katikkiro agambye nti obwakabaka bwenyigira mu mizannyo olw’ensonga enkulu mukaaga.
1). Okuleetawo enkolagana mu bantu.

2). Okugatta abantu n’okuleetawo emirembe/ obwa sseruganda.

3). Okunoonya ebitone naddala mu baana abato n’abavubuka wamu n’okubayamba obutava ku mulamwa.

4). Emizannyo gireeta enkulaakulana eri abo abagyenyigiramu.

5). Okulaakulanya obuwangwa bwaffe n’ennono yaffe kubanga Kabaka y’entabiro yebyo byetukkiririzaamu.

6). Emizannyo gitukuuma nga tuli balamu.

Ye Ssentebe w’akakiiko akateekateeka empaka zino, Okira Edward ategeezezza Katikkiro nti baagala omwaka gwa 2021 obwakabaka obw’enjawulo okuva mu Uganda ne ku lukalu lwa Africa, bubeere nga bwetaba mu mpaka zino okwongera okuzifuula ez’amaanyi.

Minisita w’eby’emizannyo mu bwakabaka Henry Kiberu Sekabembe, agambye nti omuzannyo gwa Volleyball gwegumu ku mizannyo emitono egigatta abantu ku buli mutendera omuli; abaana, abakulu, abakadde, abayivu n’abatali bayivu, abafudde omuzannyo guno ogwamaanyi.

Ssenkulu wa Kampala Capital City Authority, engineer Andrew Kitaka, asinzidde wano neyeebaza obwakabaka okuteekawo enkolagana ennungi ne KCCA nga balaba kikulu nnyo okujaguza amazaalibwa ga Kabaka kubanga Buganda ne KCCA baweereza abantu bebamu era nga wano webasinzidde okuvujjirira empaka zino n’obukadde kkumi (10m).

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Omumyuuka w'omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwekutte basajja baayo 8 okuva ku Poliisi ya Kira Division lwakwekobaana nebabba ensimbi 192 zekizibiti ezanunulwa okuva ku basirikale ba UPDF abaali bazibbye ku mukozi eyali azitwala mu bank. Kigambibwa nti ku bukadde192 babhyeeko obukadde 62. Poliisi egamba nti batandise okuzinoonya.

Omumyuuka w`omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwekutte basajja baayo 8 okuva ku Poliisi ya Kira Division lwakwekobaana nebabba ensimbi 192 zekizibiti ezanunulwa okuva ku basirikale ba UPDF abaali bazibbye ku mukozi eyali azitwala mu bank. Kigambibwa nti ku bukadde192 babhyeeko obukadde 62. Poliisi egamba nti batandise okuzinoonya. ...

22 4 instagram icon
Ebyokwerinda ku Kkooti y'amaggye e Makindye binywezeddwa nga Bannakibiina kya National Unity Platform 28 baleeteddwa okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. 
Abasibe naboluganda bavudde mu mbeera okuvannyuma lwa Kkooti okugaana okusaba kwabwe omulundi ogwokusatu.
r the 3rd time. Ssentebe wa Kkooti eno Brig. Gen. Freeman Mugabe ategeezezza nti bano 28 tebalina bifo byankalakkalira gyebabeera nga singa baba bagaanye okudda mu kkooti gyebayinza okubanionyeza.
Bano bavunaanibwa omusango gwokulya mu nsi yaabwe olukwe wamu nakusangibwa n'byokulwanyisa era nga abantu 6 bebakawa obujulizi ku bano.
suspects are facing one court of treachery and unlawfully possession of ammution . 
Bano okugaanibwa okweyimirirwa kiba kitegeeza nti bano abakwatibwa mu 2020 bakubeera mu nkomyo okutuusa omusango nga gumaze okuwulirwa.

Ebyokwerinda ku Kkooti y`amaggye e Makindye binywezeddwa nga Bannakibiina kya National Unity Platform 28 baleeteddwa okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.
Abasibe naboluganda bavudde mu mbeera okuvannyuma lwa Kkooti okugaana okusaba kwabwe omulundi ogwokusatu.
r the 3rd time. Ssentebe wa Kkooti eno Brig. Gen. Freeman Mugabe ategeezezza nti bano 28 tebalina bifo byankalakkalira gyebabeera nga singa baba bagaanye okudda mu kkooti gyebayinza okubanionyeza.
Bano bavunaanibwa omusango gwokulya mu nsi yaabwe olukwe wamu nakusangibwa n`byokulwanyisa era nga abantu 6 bebakawa obujulizi ku bano.
suspects are facing one court of treachery and unlawfully possession of ammution .
Bano okugaanibwa okweyimirirwa kiba kitegeeza nti bano abakwatibwa mu 2020 bakubeera mu nkomyo okutuusa omusango nga gumaze okuwulirwa.
...

42 2 instagram icon
Mugiriko 🔥🔥🎤🤟 Live 97.3  Tubuuza #busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #Cleaner Be Bizimbe Eyo Ewammwe 
#SuremanSsegawa
#RadioSimba97.3
#MugilikoAudioOut

Mugiriko 🔥🔥🎤🤟 Live 97.3 Tubuuza #busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #Cleaner Be Bizimbe Eyo Ewammwe
#SuremanSsegawa
#RadioSimba97.3
#MugilikoAudioOut
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Omulangira Ndausi Subwoofer 40feet container Tumbukutu Self Contained n'amalala mangi nnyo. Yogayoga Ssebo okutuuka ku lunaku luno.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Omulangira Ndausi Subwoofer 40feet container Tumbukutu Self Contained n`amalala mangi nnyo. Yogayoga Ssebo okutuuka ku lunaku luno. ...

3 0 instagram icon
Wabaddewo okusika omuguwa mukuziika omulwanirizi w'eddembe Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Sarah Eperu olunaku lweggulo e Koloin, mu Disitulikiti y'e Ngora wakati w'ekiwayi kya FDC ekye Najjanankumbi ne kye Katonga. Kino kyadiridde abantu okwekutulamu ku ani aba asooka okwogera nga abatuuze bagamba nti owmana womu kitundu Patrick Oboi Amuriat yalina okusooka okwogera oli ayite omugenyi Kizza Besigye. Kino kyawalirizza Rev. Fr. John Eriau okuyimiriza okwogera kwonna okuva mu bakungu nagenda mu maaso n'omukolo gwokuziika.

Wabaddewo okusika omuguwa mukuziika omulwanirizi w`eddembe Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Sarah Eperu olunaku lweggulo e Koloin, mu Disitulikiti y`e Ngora wakati w`ekiwayi kya FDC ekye Najjanankumbi ne kye Katonga. Kino kyadiridde abantu okwekutulamu ku ani aba asooka okwogera nga abatuuze bagamba nti owmana womu kitundu Patrick Oboi Amuriat yalina okusooka okwogera oli ayite omugenyi Kizza Besigye. Kino kyawalirizza Rev. Fr. John Eriau okuyimiriza okwogera kwonna okuva mu bakungu nagenda mu maaso n`omukolo gwokuziika. ...

36 3 instagram icon
Naye banange! Merry Heart Comedy simanyi oba omukulu mumuwulidde!? Sureman Ssegawa omusajja wamukozeeki?

Naye banange! Merry Heart Comedy simanyi oba omukulu mumuwulidde!? Sureman Ssegawa omusajja wamukozeeki? ...

51 0 instagram icon