Kadaga asiimye bonna abamuwagira mu kalulu ka CEC
Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga avuddeyo nasiima abavuddeyo nebamuwagira mu lwatu bweyabadde avuganya ku kifo ky’omumyuuka wa Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM owooukubiri omukyala. Ono agamba nti musanyufu okuba nti aweerezza ekibiina kye okuva lwekyatandikibwawo. Ono avuddeyo nayozayoza abawanguzi.
Mu ngeri eyenjawulo asiimye abantu abo abawanika ebipande bye wakati mukusoomozebwa okwamaanyi nga okutiisibwatiisibwa, ono agamba nti bano balaga obuvumu, okwerekereza wamu n’omukwano ogwaddala.

