Jose Chameleon asabye President Museveni asonyiwe Bobi Wine

Jose Chameleon avuddeyo nawandiikira President Museveni ebbaluwa nga amusaba asonyiwe Kyagulanyi Ssentamu Robert (Bobi Wine) era agambye bwati;

Ebbaluwa eri His Excellency Pulesidenti w’Eggwanga Uganda;

Ssebo Pulezidenti,

Okusaba okusisinkana oba okuwandiika ebbaluwa yange eyite mitendera emituufu tejja kutuukako mu budde. Mukaseera kano nsuubira ffenna tosobola okukitwala nti wabaddewo akabenje ku kyabaddewo mu Arua ku bbalaza, wabula kalese emotoka yo nga eyononeddwa wamu n’okutibbwa kw’omuntu omu era nga bangi kuffe kyatulese kituyisizza bubi.

Ne Munnayuganda, muganda wange, mukwano ggwange, muyimbi munange ate nga Mubaka wa Palamenti akiikirira abantu b’e Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu – Bobi Wine ne banne abalala bangi nga bali mu mbeera eteyagaza.

Hon. Kyagulanyi emirundi mingi tukolaganye okulaba nti tulwanyisa ennyimba engwira okwefuga Uganda wamu n’okulaba nti tutunda obuwangwa bwaffe ebweru w’Eggwanga nga tuyita mukuyimba.

Nzikiriza nti ayiseewo nnyo mukwoleka obwagazi bw’okulembera, naye nga omuvubuka yenna alina ekirubirirwa akozesezza obuvumu obusukiridde okusobola okukituukiriza.

Ssebo Omukulembeze w’eggwanga, Muganda waffe, Mutabani wo, Muzzukulu wo Bobi Wine yandiba nga yakozesezza ebikolwa ebikyamu okutuukiriza ebiruubirirwa bye n’endowooza ye, kuno kusomooza kw’amaanyi. Wabula ggwe ng’Omukulembeze w’eggwanga era Kitaffe, kiba kyakulabirako kirungi bw’osonyiwa n’ozza Bobi Wine. Tukirabye emirundi mingi nti okusonyiwa n’okutabagana bwebuzibu obusinze okuzza Uganda emabega. Tukirizze nti ffenna Bannayuganda tetwagala kusonyiwa.

Nze nga mutabani w’eggwanga lino era kulwa Katonda n’ensi yange, n’obwetowoza obungi ddala nkusaba Taata Omukulembeze w’eggwanga osnoyiwe Kyagulanyi ku mulundi guno. Ffenna tosobya wabula asonyiwa yasinga.

Ssebo President oli Taata, Muzadde ate asonyiwa akaseera konna. Tugenda kusigala nga tuli bakkakamu nga tusuubira nti byonna ebinaava gyoli bigenda tukuumira mirembe mu ggwanga lyaffe akaseera konna.

Yowaana: 8:7

Okuteeseganya kyekyokuddamu.

Kulwa katonda n’ensi yange.

🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬

Jose Chameleone.

LEONE ISLAND MUSIC EMPIRE

 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

7 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

0 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

19 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon