IMAAM W’E MASAKA ASINDIKIDDWA MU KKOMERA

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omulamuzi w’eddaala erisooka owa Kkooti y’e Masaka Grace Wakooli olunaku lweggulo yasindise Imaam wa Masaka Main Mosque Sheikh Abaasi Nseera, n’abasiraamu abalala 3 ku alimanda ku bigambibwa nti bakuma omuliro mu bantu bakube banaabwe.Sheik Abaasi Nseera, Hakim Nseera, Farouk Mulumba ne Musa Tamale kigambibwa nti bakuma omuliro mu bantu okukola effujjo ku bantu babiri saako n’okubalumya. Tamale ye avunaanibwa omusango ogwokubiri nga kigambibwa nti yatiisatiisa okutta Shiekh Ahmed Kayemba, Secretary General Masaka District Muslim Council.Kigambibwa nti emisango bagizza nga 26 May, bwewaliwo okusikangana ebitogi ku muzigiti ekyaviirako Abasiraamu okukuba Sheikh Yasini Kakomo ne Hajj Abdallah Nasuru, nga babalanga okuddukanya obubi ebintu byobusiraamu mu kitundu.

Share.

Leave A Reply