Gen. Moses Ali akomyewo okunnyonyola Parliament ku bikwata ku babaka abakwatiddwa olunaku lw’eggulo. Agambye nti Omubaka Kyagulanyi Robert Ssentamu yatwaliddwa mu Gulu Millitary Hospital okufuna obujanjabi era nga ali mumbeera nnungi. Moses Ali agambye nti Hon. Kyagulanyi yasangiddwa ne mmundu era wakutwalibwa General Court Martial e Gulu olunaku olw’enkya. Ababaka abalala 4 bakutwalibwa mu Kkooti ezabulijjo e Gulu.

Agambye nti abantu bonna awamu abakwatiddwa bali 33, Moses Ali agamba nti teri muntu n’omu yadde omubaka eyatulugunyiziddwa era nga omuntu yenna asobola okubalaba ng’ayita mu benganda zaabwe ne ba Lawyer baabwe nti era Gavumenti evumirira effujjo lyonna eryeyolekedde mu kulonda.

Menu