Gen. Kasirye Ggwanga wampola ebbanja – Gen. Kayihura

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Gen. Kale Kayihura yavuddeyo nawandiika ebbaluwaku mugenzi Gen. Ggawalegglabi Samwiri Waswa Kasirye Ggwanga eyaziikiddwa olunaku lw’eggulo; “Ndi munaku etagambika, (siyinza butakaaba) oluvannyuma lw’okukitegeerako nti Maj. Gen (Rtd) Kasirye Ggwanga yafudde ku lunaku luno olw’abazira. Maj. Gen. Kasirye Ggwanga abadde wanjawulo nnyo.
Ab’ennyumba yange wamu nange tetusobola kumwerabira era yatuwola ebbanja lyalubeerera bweyavaayo nayimirira wamu naffe wamu n’okumpolereza akabondo akamu bwekavaayo nekanzigulako olutalo.
Abadde musajja ow’ekitiibwa ddala era ajja kunsigala mu birowoozo ebbanga lyonna. Nsaasira nnyo ab’ennyumba ye olw’okuvibwako omuntu atazzikawo. Abadde muntu mulungi, General ddala ate ayagala ensi ye.
Namusisinkana mu 1985 e Masaka ku Tactical Headquarters eza National Resistance Army (NRA) Mobile Brigade eyali edduumirwa Gen. Salim Saleh. Mu kadde kano nali nkola nga Omuyambi wa Gen. Salim Saleh. Yansanyusizzaawo olw’okuba yali yekiririzaamu, nga wamazima, nga ayaniriza ate nga munyumya. Gen. Kasirye abadde Musirikale w’abasirikale”

Share.

Leave A Reply