Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 91 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Fred Enanga alabudde abadigize ku lunaku lwa Valentine

February 14, 2022 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nalabula abakyala nti bwobaako gwogenda okusisinkana ku lunaku lw’abagalana olwaleero, fuba okulaba nti omusisinkana mu kifo ekyolukale, beera n’entambula eyiyo ngosobola okuvaawo mu kadde wowulira nti okooye.
Ono asabye abakyala okukuuma ebyokunywa byabwe, abasabye okwewala okwogera ennyo ebibakwatako naddala eri omuntu gwebakasisinkana kuba kino kyabulabe.
Eri abadigize abasabye okutegeeza mikwano gyabwe wa gyebagenze okukyakalira, nga kino kiyamba mu kunoonyereza singa oba obuze, nti fuba okubawa ebikwata ku muntu gwogenze naye.