Gavumenti ya Yuganda ekwasiddwa ebibiro lya Nalubaale

Olunaku olwaleero Kkampuni ya Eskom Uganda Limited ekwasizza Gavumenti ya mu butongole oluvannyuma lw’emyaka 20 amabibiro g’amasanyalaze okuli Nalubaale nga bategeezezza nti lino lisobola okukola emyaka 20 emirala ne Kiira nga lino bategeezezza nti lisobola okukola emyaka emirala 50.
Ebibiro lya Nalubaale lyakuweza emyaka 70 omwaka ogujja. UEGCL yakutandika okugaddukanya ku lwomukaaga nga 1-April-2023 okusinziira ku CEO, Dr Eng. Harrison Mutikanga.

Add Your Comment