Gavumenti ewaddeyo obuwumbi 2 ku mulimu gwokuzzaawo Amasiro
Gavumenti eyongedde okuwagira omulimu gw’okuzzaawo amasiro. Pulezidenti wa Uganda, Yoweri Museveni bw’aweerezza ensimbi obuwumbi 2 zongere okuvujjirira ebikyasigaddeyo ku mulimu gw’okuddaabiriza Amasiro gano.
Obubaka bwa Pulezidenti buno abutisse omuwabuzi we, Lt. Gen Proscovia Nalweyiso era ono akakonge ka bbanka ak’ensimbi zino akakwasiza Omulangira David Kintu Wasajja, Nnaalinnya Victoria Nkinzi, Nnaalinnya Namikka, Minisita Choltilda Nakate ne Owek. Kaddu Kiberu
Lt. Gen. Nalweyiso yebazizza Obwakabaka olw’omulimu gwe bukoze okuzzaawo amasiro ng’agamba nti amasiro kya muwendo eri Buganda ne Uganda okutwalira awamu, nga kye kimu ku by’obulambuzi ebisinga okwettanirwa mu ggwanga. Ayongeddeko nti Pulezidenti wa kugenda mu maaso n’okuwagira omulimu gw’okuzzaawo n’okulabirira amasiro gonna mu Buganda.
Ye Minisita w’Ekikula ky’Abantu mu Buganda, Oweekitiibwa Choltilda Nakate yebazizza gavumenti okuwagira omulimu gw’okuzzaawo amasiro era ne yeyama nti Obwakabaka bwa kugenda mu maaso n’okulaba ng’amasiro gonna mu Buganda galabirirwa okusobola okuweesa Buganda ekitiibwa.
Lt. Gen. Nalweyiso mu masiro ayaniriziddwa Nnaalinnya Victoria Nkinzi, Omulangira David K. Wasajja, Owek. Choltilda Nakate, Owek. Kaddu Kiberu, n’abalala

