Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 191 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Gavumenti esabiddwa okuteeka envumbo ku basuubula emmere mu kyeya

January 25, 2017 · Mubiru Ali

Ssentebe w’ekitongole ekitwala abalimi mu ggwanga ekya Uganda National Farmers Federation, Charles Ogang agamba nti ebisolo bingi bigenda kufa olw’ekyeya, kubanga enkuba esuubirwa kutonnya ku nkomerero ya gwakusatu oba ku ntandikwa ya gwakuna okusinziira ku b’enteebereza y’obudde

Ng’ayogerako eri ab’amawulire ku yafeesi z’ekitongole ezisangibwa e Nakasero mu Kampala, Ogang akubirizza abalimi naddala abo abalina ente ennyingi, obutazifiirwa mu kyeya kino, batundeko.

Wabula Ssentebe ayagala Gavumenti eteeke envumbo ku basuubuzi b’emmere egenda mu mawanga nga S. Sudan, Kenya n’amala  abasussizza okudondola ebirime wamu n’ebisolo by’abalimi mu kyeya ekikutte wansi ne waggulu.