Eyali Minisita Alupo ayolekedde okudda mu Palamenti

Jesca Alupo eyali Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza ayolekedde okudda mu Palamenti oluvannyuma lwa kooti enkulu e Soroti okuggyayo eyali omuwangudde mu kifo ky’omubaka omukyala akiikirira abantu b’ekatakwi .

Alupo yawangulwa mu kamyufu ka NRM wabula  neyeesimbawo ku bwa namunigina era n’awangulwa Violet Akurut omulundi ogwokubiri.

Wabula wetwogerera nga kooti ewanduukuludde Akurut mu Palamenti y’ekkumi olw’ensonga nti yagenda okusunsulwamu okuvuganya ku kifo kino nga talekulidde kifo kya bwa Komisona mu Uganda Human Rights Commission .

Kinajjukirwa nti Arupo teyakomezebwawo mu kifo kya bwa Minisita nga  ekifo kyeyalimu kyaweebwa Omukyala w’omukulembeze w’eggwanga  Janet Kataha Museveni .

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

66 4 instagram icon