Eyabba Ssente mu Speke Apartments akwatiddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan PoliceASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya Jinja Road bwekutte Adome Jeremy, 36, ku bigambibwa nti yabba emitwalo 8 egya ddoola okuva mu Room 107 mu

Speke Apartments Wampewo.
Kigambibwa nti Ssente zino zabbibwa ku Sheila Nandege 36, eyali apangisizza apartment okumala enaku 30 okuva nga 5-December-2020.
Okusinziira ku katambi okuva ku CCTV akakwatibwa nga 24-December-2020, Adome nga naye asula ku kizimbe kyekimu yayingira room 7 b’omuntu omulala atanakwatibwa, era oluvannyuma balabwako nga bafuluma n’ebintu era oluvannyuma Adome yaddukira mu Arua. Poliisi yamuyigga era nemusanga mu maka ge olunaku lw’eggulo nebamusanga n’emitwalo 6 egya ddoola egyebiccupuli.
Adome alumirizza nti ssente zebamusanze nazo zeezo zeyaggya mu 107. Poliisi egamba nti etandise okukinoonyerezaako nga bwenoonya munne.
Share.

Leave A Reply