Ettaka Museveni lyeyasaba e Busoga likyankalannyizza abakulembeze

Ekiteeso kya Pulezidenti Museveni kyeyaleeta nga ayagala aweebwe ettaka  mu Ggombolola y’e Kityerera ekiri mu Disitulikiti y’e Mayuge asobole okukuba olusiisira eyo atandikwewo ennimiro ezinaabeera ekyokulabirako mwanaayita okulwanyisa enjala wamu n’obwavu obukudde ejjembe mu bitundu by’e Busoga, kireetedde abakulembeze mu bitundu by’eyo enjawukana, nga abamu bakiwagira ate abalala bakiwakanyiza ddala .

Eri abo abakiwagira, bagamba nti enteekateeka eno yaakuteeka ekitundu kyabwe ku maapu olwokuba n’ebizimbe ssaako n’ennimiro eziri ku mutindo.

Kijjukirwa nti ku mikolo egy’okukuza ameefuga ga Yuganda egy’omwaka oguwedde egyali  mu Disitulikiti y’e Luuka , Pulezidenti Museveni yasinziira wano n’ategeeza nga bweyali ayagala ettaka mu kitundu ky’e Kityerera ateekeyo ennimiro ezoomulembe ezinaasobola okusikiriza abantu boomu Busoga okwenyigira mu nnima eri ku mulembe.

Nabwekityo gyebuvuddeko yaweebwa ettaka eriweza yiika asatu (30) mu kitundu kino  nga lyamuweebwa  Chief wa Busoga , John Ntale Nanumba.

Wabula ate eyavuganyaako ku ntebe y’eggwanga mu kalulu akawedde nga ye mukyala yekka eyalimu, Moureen Kyalya avuddeyo n’ategeeza nti ate ettaka lino eryaweebwa Pulezidenti lya baana bamulekwa era nga Ntale nga eyasigaza obuvunaanyizibwa bw’abaana bano , yaliwaayo nga tebakimanyi .

 

 

 

T

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply