Erias Lukwago ye Pulezidenti wa PFF
Loodi Mmeeya wa Kampala, Erias Lukwago, alondeddwa okubeera Pulezidenti ow’ekiseera ow’ekibiina kya People’s Front for Freedom (PFF) ku kisanja kyamyaka 2. Omubaka wa Buikwe South Dr. Lulume Bayiga, eyakava mu Democratic Party Uganda alondeddwa okumyuuka Lukwago mu Buganda. Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda alondeddwa nga Ssaabawandiisi w’Ekibiina.

