Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Enongosereza tezigenderera kulemesa Bobi Wine – Attorney General

Attorney General, Mr William Byaruhanga avuddeyo nawakanya ebibadde bitambula nti enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda zeyareeta mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga zigenderera Bannabyabufuzi abamu.
Yagambye nti enongosereza zino tezirina kwezigenderera kulemesa kabeera Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine kuba Ssemateeka w’eggwanga awa buli muntu eddembe okweyagalira mu nsi ye.
Byaruhanga agamba nti okuva ebbago lino lweryaleetebwa mu Palamenti, wabaddewo okuwubisibwa ku tteeka lino oluvannyuma lw’okulemererwa okulitegeera obulungi.
Byaruhanga agamba nti byonna ebyaleetebwa kkooti enssukulumu byateereddwa mu bbago lino.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort