Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 355 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Mukozese amasannyalaze okuleeta obugagga mu maka gammwe – MP Lugoloobi

April 30, 2018 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti owa Ntenjeru ey’amambuka Amos Lugoloobi asabye abantu b’ekitundu ky’akiikirira okweyambisa obulungi amasannyalaze Gavumenti geesaasaanya mu misoso gy’ebyalo kiyambe okuleeta obugagga mu maka gaabwe nga bakozesa amasannyalaze gano ebintu ebiyinza okuvaamu ensimbi.

Omubaka Amos Lugoloobi asinzidde ku mikolo  gy’okusonda ensimbi ez’okuzimba amasinzizo e Luteete mu kitundu kino ky’akiikirira  n’awaayo akakadde k’ensimbi mu Klezia ne mu Kkanisa.

Lugoloobi agamba nti abantu b’omubyalo batunuulira butunuulizi amasannyalaze wabula kati kyekiseera bafune eky’okugakozesa nga batunda eby’okunywa ebinnyogoze, okusiika emberenge n’emirimu emirala .