Enanga byeyayogedde si bituufu – Peter Kauju

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi w’ekitongole ky’amasanyalaze ekya Umeme Limited Peter H Kaujju avuddeyo nasambajja ebyayogeddwa omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga ku bantu abakwatibwa; “Tukitegeddeko mu mawulire agatambuzibwa nti ku bantu Poliisi beyakwatwa nga basangibwa ne waya z’amasanyalaze nti bakozi ba Umeme.
Mu kiwandiiko kya Bannamawulire ekyafulumiziddwa omwogezi wa Poliisi Enanga nga 25-April-2022, yalaze nti abakwatibwa okuli; Joseph Semuyaba ne James Kalumba nga bakozi ku ttabi ly’e Banda sikituufu. Bano aboogerwako tebabeerangako bakozi ba Umeme era tetubamanyi. Kino mukifune bulungi, Umeme terina offiisi yonna e Banda.”
Share.

Leave A Reply