Embwa zirumye wa myaka 07 n’afiirawo – Lugazi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Nakazadde ekisangibwa mu Munisipaali y’e Lugazi omwana omulenzi wa myaka musanvu bw’agwiriddwako embwa nezimuluma n’afiirawo.

Omwana ono ategeerekeseeko erya Ivan nga mutabani wa God avuga Bodaboda e Lugazi, agobeddwa embwa ku ssaawa nga kkumi ez’akawungeezi ka leero awo enkuba w’etonnyedde okukkakkana nga zimutuusizza mu musiri gwa lumonde gyezimugwiriddeko ekiyiifuyiifu okukkakkana nga aserengese ekalannamo.

Ssentebe w’ekyako Nakazadde, Omwami Kibirango Israel akakasizza bino era n’asaba abakulira Munisipaali y’e Lugazi okubaako kyebakolera embwa zino ezitaayaayaa buli kadde.

Share.

Leave A Reply