Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 161 listening Simba FM Live

Ddereeva azuuliddwa ne COVID-19 bamukwatidde Luweero n’omusaabaze

May 15, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force ekiro kyajjo yasazeeko Ddereeva Munnayuganda eyakeberebwa ku nsalo ya Yuganda ne Tanzania ey’e Mutukulu nga wamyaka 28 wabula nakirizibwa okweyongerayo nga yabadde agenda ku nsalo y’e Elegu mu Disitulikiti y’e Amuru wabula ebyavudde mu ‘sample’ eyamugibwako nebiraga nti alina #COVID-19.
Ono yasangiddwa n’omukyala nga wa myaka 27 nga kigambibwanti yamuggye Kibuli. Bano bombi babadde batuuse e Luweero mu ttawuni era nga aduumira Poliisi mu Disitulikiti eno Abraham Tukundane, yategeezezza nti aba Minisitule y’Ebyobulamu bebatemezza ku Poliisi nebagiragira okumuyimiriza obuteyongerayo era nti nabo kwekusuula emisanvu ekiro ku ssaawa nnya.
Ono ne munne Poliisi yabawerekedde okutuuka ku minzaani y’e Luwero okulinda emotoka agafa e Mulago eyakimye Ddereeva okumutwala mu Ddwaliro e Mulago okujanjabwa. Ye Omukyala akimiddwa leero ku makya natwalibwa mu ‘quarantine’ mu Kampala. Avunaanyizibwa ku byobulamu mu Luweero Mw. Nkonwa yategeezezza nga bwebatandise okulondoola ku Famire ya Ddereeva omulala ey’e Wobulenzi eyakebereddwa nasangibwa n’ekirwadde kino nga ono ye bamusanze Gulu.