Ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa kukulwanyisa obubbi bw’ebisolo kikutte ababadde batambuza ente

Ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa kukulwanyisa obubbi bw’ebisolo ekya Anti Stock Unit kikutte ababadde batambuza ente ezisoba mu 100 ku motoka za Fuso e Masanafu ku luguudo lwa Kampala Northern Bypass.

Kiteberezebwa nti bano ente babadde bazijja mu bitundu ebyateekebwako kkalantini olwokubeera n’obulwadde obwa ‘Foot and Mouth’, SSP Muzafar Zirabamuzaale adduumira Anti Stock Unit akakasiza ensonga eno nagamba nti bafunye okutemezebwako okuva munsonda ezesigika nti waliwo ente ezabadde zigiddwa e Tanzania neziyingizibwa Uganda okuyitira e Mutukula n’e Kyotera, omuwendo gw’ente wamu n’emotoka nebazirinda era nebazikwata.

Kigambibwa nti zino zaabadde zitwalibwa mu lufula y’oku Kalerwe, Muzafar yagambye nti zino zigenda kudizibwayo ku ffaamu gyezabadde zigiddwa.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Ekibuga ky’e Arua kyakayakana