Ekitongole ki Financial Intelligence Authority FIA kitadde envumbo ku akawunti zebitongole byobwannakyeewa ebiwerako ebikolera mu Uganda
🗳️ Ekitongole ki Financial Intelligence Authority (FIA) kitadde envumbo ku akawunti z’ebitongole byobwannakyeewa ebiwerako ebikolera mu Uganda mukunoonyereza okugenda mu maaso ku makuba awava ssente eziweebwa ebitongole bino ssaako n’emirimu gyebikola.
Director wa Financial Intelligence Authority, Samuel Were Wandera, akakasizza kino nategeeza nti kino kyasaliddwawo nga bakolagana n’ebitongole bya Gavumenti ebirala ebyavaayo nebyemulugunya ku ngeri gyebifunamu ensimbi.
Wandera agamba nti babitaddeko envumbo okusobozesa okunoonyereza okukolebwa okugenda mu maaso ne ku mirimu egikolebwa ebitongole bino. Kigambibwa nti ebitongole byebyokwerinda byasaba ebitongole bino okunnyonyola ani abivvugirira ensimbi era zikola mirimu ki.
Ebitongole bino kuliko: Agora Centre for Research, Chapter Four Uganda, African Institute for Investigative Journalism, Centre for Constitutional Governance, The Great Lakes Institute for Strategic Studies n’ebirala. Kigambibwa nti mu bitongole ebimu envumbo teyateekeddwa ku akawunti zabit

