Ekidyeeri ky’e kayunga bayimirizza entambula zaakyo

Ekidyeeri ekibadde kisaabaza abantu okuva e Kayunga okudda e Kamuli ekya Mbulamuti bayimirizza eŋŋendo zaakyo okumala ebbanga eritanategerwa. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority kitegeezezza nti ku lunaku l’wokubiri loole bweyali eva ku kidyeeri kino yamenya ebimu ku bintu ebikiyamba obutabbira.
Aba UNRA basabye abantu bonna ababadde bakozesa ekidyeeri kino okutandika okukozesa enguudo okuli oluva e Kampala okudda e Jinja, oba olw’e Kayunga-Jinja-Kamuli mu budde buno.
Ekidyeeri kya Mbulamuti kitikka ttani 90 era nga kyatandika okukola nga 20-December-2011 nga kyabwereere. Kitwala eddakiika 15 zokka okusala okuva ku mwalo gw’e Kasaana okudda ku mwalo gw’e Mbulamuti mu Disitulikiti y’e Kamuli.
Kitikka abantu 700 n’emotoka 65 buli lunaku.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply