Ekibinja ekisooka ekya bannayuganda ababadde e Juba kituuse mu ggwanga

 

Ekibinja  ekisooka  ekya bannayuganda abasoba mu 3000 abaggyiddwa e South Sudan kimaze okwesogga Yuganda okwaboobwe .

Omwogezi w’amagye ga Yuganda Lt . Paddy Ankunda  ng’ayita ku mukutu gwa Yintaneti agambye nti ekiwayi ekisooka kimaze okusomoka Sudan ey’amaserenegeta okuyingira Yuganda

Wabula bo bannansi ba South Sudan abali  mu Yuganda bavumiridde ebikolwa eby’okulwanagana ebyaddamu okubalukawo wakati w’abajaasi abangondera Pulezidenti Salvar Kiir n’abomumyuka we Riek Machar .

Bano mukafubo ketubaddemu nabo nga abasinga babadde bayizi ba masomero bagamba nti okulwanagana kwakongera okutaaataaganya abantu ba bulijjo .

Kinnajjukirwa nti okulwanagana kuno kwaddamu okubalukawo  mu ssabbiiti ewedde nga mwafiiriddemu bannayuganda mukaaga mulambirira .

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

4 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

72 4 instagram icon