E Kotido okunoonya akalulu kagweredde mu mayinja

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abantu abawerako balumiziddwa mu kulwanagana wakati w’abawagizi b’ebibiina eby’enjawulo ebivuganya mu Kotido Municipality nga balindirira okulonda enkya. Abalumiziddwa ennyo kuliko abakyala babiri nga kati mukufuna obujanjabi mu ddwaliro lya Church of Uganda HIII.

Bino byonna byadde mu Central Division e Kotido abawagizi ba eyesimbyewo kululwe Jean Mark Aporu bwebalwanye n’abawagizi b’owa NRM Peter Abrahams Lokii.
Bano basisinkanye mu kifo kyekimu awabadde walina okubeera olukungaana nebatandika okwekuba emiggo wamu n’amayinja era nga Poliisi yasanze akaseera akazibu okumalawo efujjo.
DPC we Kotido Alfonse Ojangole agamba nti abantu abawerako bakwatiddwa era nga balinze kuvunaanwa mu kkooti z’amateeka.

Share.

Leave A Reply