Crime Preventer asimattuse okuttibwa lwa bubbi bwa Pikipiki

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Atangira obumenyi bw’amateeka (Crime Preventer) ataasiddwa Police ku batuuze ababadde bataamye obugo okumumiza omusu olw’ebigambibwa nti yeenyigidde mu bubbi bwa Pikipiki. 

Wasswa Masembe Hassan ow’emyaka 28 nga abadde okolera ku  Police Post y’e Bukolooto mu Disitulikiti y’e Kayunga y’asimattuse amagombe oluvannyuma lw’omuvubuka amanyiddwa nga Abbas Mbalire eyakubiddwa era ne Pikipiki ye  nebbibbwa okumulonkomayo nti yabadde omu ku abo abaamubbye.

Wasswa Masembe kati atemeza mabega wa mitayimbwa ku Police y’e Kayunga nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso wabula Police egamba nti ono kati omulimi akwata mu lya mpiki.

Share.

Leave A Reply