Colonel Mamady yalayiziddwa ku bwa Pulezidenti bwa Guinea

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Colonel Mamady Doumbouya, eyakulemberamu okuwamba Gavumenti e Guinea Conakry olunaku lweggulo yalayiziddwa ng’omukulembeze ow’ekiseera nasuubiza okuwaayo obuyinza eri omuntu wabulijjo.
Doumbouya, eyakulemberamu okuwamba Pulezidenti Alpha Conde nga 5 September, yalayiziddwa akulira Kkooti Ensukulumu Mamadou Sylla ng’omukulembeze owekiseera ekitalagiddwa.
Ono yasuubizza nti tewali muntu yenna kubakulira okuwamba yadde ye agenda kwekiika mu kubo lyakalulu.
Yategeezezza nti Gavumenti ye erina ekigendererwa ekyokuzzaawo Ssemateeka, okulwanyisa enguzi, okukola enongosereza mu mateeka gebyokulonda n’okutegeka akalulu akamazima n’obwenkanya.
Share.

Leave A Reply