cao ne yiginiya b’e lira bagaliddwa

Akakiiko ka Palamenti akalondoola ebitongole bya Gavumenti kaalagidde akulira abakozi ba Gavumenti ne Yinginiya aba Disitulikiti ya Lira bakwatibwe oluvannyuma lw’okulemwa okunnyonnyola lwaki tebalina nteekateeka y’okuzimba ekisaawe kya Akii-Bua kyokka nga baaliko emirimu gyebasaasanyizaako ensimbi.
Mark Tivu nga ono ye Chief Administrative Officer (CAO) ne Hudson Omok District Engineer bebagaliddwa.
Mark bwayabuuziddwa yalaze nti obukadde 40 bwebwakozesebwa mukukuba ettaka, okulitereeza kuba lyali lya kisenyi. Nti era baakozesa obukadde 270 okuzimba kabuyonjo wamu Pavilion eyateekabwawo.
Yayongedde nategeeza nti obukadde 276 bwakozesebwa Minisitule y’ebyenjigiriza wansi w’ebiragiro byeyali Minisita mukadde ako Maj. Jesca Alupo okuliyiyirira abaali balimira ku ttaka lino lyeyagambye nti lyali lya Gavumenti nga lutobazi olutalina kikolebwako.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply